Amawulire
Kampala wakubooga
Ekibuga kya Kampala kyakubeeramu abantu abasoba mu bukadde 20 omwaka 2040 wegunatukira.
Kino kibikuddwa banka y’ensi yonna mu kunonyereza kwayo okw’emyeezi 6 ku bibuga ebyenjawulo n’ebyenfuna byabyo.
Okunonyereza kuno era kulaze nga abantu bwebagenda n’okweyongera mu bibuga ebirala kale nga gavumenti erina okuteekeratekera obulungi abantu baayo, engabanya y’ettaka ereeta enkulakulana saako n’okulaba nga ebibuga bikwatagana bulungi.
Banka eno etegezezza nti olw’abantu abeyongera buli lukya mu ggwanga, gavumenti erina eddimu okulaba nga ebasembereza amazzi amayonjo ssaako n’okulongoosa mu mpeereza yaayo nga kwogasse okutumbula obuyonjo.