Amawulire

Abasuubuzi batabuse lwamunaabwe eyafa

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Traders bitter 2

Abasuubuzi balumbye ofiisi z’akulira ekitongole ky’ebyamakomera mu ggwanga wali ku parliamentary avenue nebagumba awo nga bemulugunya olw’omusango gwa munaabwe Josephine Namanda eyayiirwa asidi obutawulirwa.

Namanda y’afa olw’ebisago byeyafuna nga kiteberezebwa nti bba Hakim Kakaire y’eyali emabega w’olukwe luno wabula nga n’olwaleero tareeteddwa mu kkooti.

Abasuubuzi bano bawerekeddwako  bamulekwa ne bazadde b’omugenzi.

Bbyo eby’okwerinda binywezeddwa ku ofiisi zino nga era abasuubuzi bakutte ebipande ebiraga obutali bumativu bwabwe.

oluvanyuma aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Haruna Isabirye awoyezawoyezza abasuubuzi bano n’abategeeza nga bwebatasobola kuleeta muntu muyi mu kkooti nga balinda awone bulungi olwo avunanibwe.

Ggwo  omusango guno gwongeddwayo okutuusa nga 18 omwezi guno nga ne Kakaire akubye ku matu nga era oludda oluwaabi lutegezezza nga okunonyereza bwekuwedde.