Akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza enteekateeka yonna ey’okulonda kw’omwaka 2016
Okuwandiisa abagenda okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga kwakubaawo nga 5th October era nga kwakumala ennaku bbiri
Abanesimbawo ku bifo by’okukiika mu palamenti bbo bakuwandiisibwa nga 9th ne 10th November 2015.
Okuwandiisa abanesimbawo ku bifo bya gavumenti ez’ebitundu kwakubaawo nga 19th November era kuggwe nga 23rd November 2015.
Kampeyini mu butongole zitandika nga 12th October era zifundikirwe nga 15th February 2016
Akola nga ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Joseph Biribonwe ategezezza nga bwebatanasalawo ku lunaku lw’okulonda era n’asaba abantu bekikwatako okukolagana nabo olw’okulonda okwemirembe era buli kimu kitambule bulungi.