Abaakwatibwa ku musango gw’obutujju okuva wano mu Kisenyi basindikiddwa mu kkooti enkulu bavunaanibwe.
Empapula ezongerayo bano mu kkooti enkulu ziweereddwayo omuwaabi wa gavumenti Esther Narungi.
Okusinziira ku ssabawaabi wa gavumenti , baakuleeta obujulizi obulaga nti bano baali boogerageranya n’abakambwe ba Al shabab nga era baali bakwatagana n’akulira abatujju bano Adam Mohammed.
Okusinziira ku bujulizi , abavunaanwa baali baagala kutega bbomu mu Kampala ne Entebbe.
Bano kati bongeddwayo ku alimanda e Luzira okutuusa olutuula lwa kkooti olujja.
Bano kuliko banansi b’eggwanga lya Somalia 7 ne munnakenya omu.