Waliwo omuyizi akwatiddwa lwakutta munne
Joel Odoi ng’ali mu kibiina kya kuna mu ssomero lya Tororo Children of Promise primary school yalwanaganye ne munne n’amusindika neyekoona n’atandika okuvaamu omusaayi era n’afa
Omwana ono yafudde atuusibwa mu ddwaliro ab’essomero gyebamuddusizza nga biwalattaka
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo agambye nti omwana ono bamaze okumukwata nga bakumuggulako misango gya butemu
Odongo era azzeemu okujjukiza abakulira amasomero okukuuma abaana obulungi okwewala ebikolwa nga bino.