Abasuubuzi neba kasitoma baabwe basigadde bakonkomalidde oluvanyuma lw’enkuba etonnya ku makya ga leero okutwaala emmali yaabwe
Emidaala egyakazimbibwa ku luguudo lwa kafumbe Mukasa giyiise wakati mu mataba agayiseewo butereevu okutuuka mu maduuka g’abasuubuzi
Bbo nno abasuubuzi omusango bagusalidde KCCA gyebagamba nti ekyalemereddwa okugogola emyaala
Mu balala abakoseddwa kubaddeko aba USAFI, ne Nakivubo.