
Okutuusa olunaku olwaleero, okusimba, okutambuza wamu n’okutunda enjaga gubadde musango munene ddala nga era singa gukukka mu vvi osibwa emyaka 15 mu kkomera.
Ababaka ba palamenti 68 bebayisizza etteeka lino ku njaga nga bbo 39 baabadde baliwakanya nga bagamba kino kyakuwa abakozesa ebiragalalagala ekyanya okunywa enjaga awatali abakuba ku Mukono.