Skip to content Skip to footer

Mbabazi waddembe okujjayo foomu- NRM

File Photo: Mbabazi eyali sabaminisita
File Photo: Mbabazi eyali sabaminisita

Ab’ekibiina kya NRM bagamba nti eyali ssabaminisita Amama Mbabazi waddembe okwebuuza ku balonzi be ssinga amala n’ajjayo ffoomu z’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga ssabbiiti ejja.

Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa abo bonna abagaala okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga, okukiika mu palamenti , ku bwa loodimeeya kko n’obwa ssentebe , bakutandika okujjayo foomu nga 14 omwezi guno okutuukira ddala nga 31 omwezi guno.

Akulira akakiiko akalondesa Tanga Odoi agamba nti Mbabazi n’abalala bonna abaagala ebifo bajja kuba ba ddembe okwebuuza ku balonzi.

 

Kati nno nga tewannayita na lunaku nga NRM efulumizza pulogulaamu, abamu ku bannakibiina bawakanyizza ensimbi ezisabwa abo abesimbyeewo.

Abo abagaala obwa pulezidenti balina okusasula obukadde 10, ba MP bakusasula obukadde bubiri , loodimeeya kamu kitundu, ate bbo ba ssentebe ba disitulikiti bawe akakadde ate ba loodi kansala mitwalo 75

Ssentebe w’akakiiko akalondesa agamba nti ensimbi zino zakanyiziddwaako olukiiko olufuzi olwa NRM.

Kati omu ku batunuulidde entebe ye Lubaga mu bukiikaddyo Ronald Kiiza Ssenyange, agamba nti obukadde obubiri bungi nnyo ku bantu abatabadde mu palamenti

Agamba nti ensimbi zino zirina okukendeezebwa okwewala okuleka abantu abamu emabbali.

Leave a comment

0.0/5