
kya NRM
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi ssiwakupapa kujjayo mpapula za kwesimbawo mu kamyufu yadde nga akakiiko k’ekibiina kya NRM akafuzi kajjeewo obumu ku bukwakkulizo eri abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga
Mbabazi ayagala kuvuganya ku ky’okukwatira ekibiina kya NRM bendera ku bwa pulezidenti wamu n’ekya ssentebe w’ekibiina kino.
Omu ku bannamateeka ba Mbabazi Fred Muwema ategezezza nga NRM bweyakoze ekibadde kyetegisa wabula omuntu waabwe ayagala amateeka gakyusibwe ddala okwewala ago agatali ga bwenkanya eri abagenda okuvuganya.