
Abakozi ba gavumenti mu disitulikiti ye Sironko batiisizza okuteeka wansi ebikola nga bemulugunya nti bamaze ebbanga nga tebakomba ku musaala.
Abakozi bano bagamba tebanafuna musaala gwa myezi 3 sso nga abababanja babali bubi nga tebalina na ssente zisasulira baana baabwe fiizi ku masomero.
Akulira abakozi mu disitulikiti eno Joseph Lomongin akkirizza nga bwewabaddewo okulwawo okusasula omusaala guno wabula n’asambajja ebigambibwa nti abakozi baakamala emyezi 3 nga abakozi tebalaba ku musaala.