Ebyobulamu
Banakyewa bajanjabye abe`Mukono
Ekibiina ky’obwanakyewa ekikolera mu disitulikiti y’e Mukono ekya Nama Wellness Community,kibakanye ne kawefube w’okutuuka mu byalo okujanjaba abaayo endwadde ezitali zimu naddala mu baana n;abakyala.
Endwadde zino kuliko omusujja gw’ensiri ssaako ne kookolo wa nabaana mu bakyala.
Akulira ekibiina kino Mathew French agamba abantu abankuseera naddala mu byalo betaga okuweebwa ku bujanjabi ku ssente entono kale nga gavumenti esaana okwongera ensimbi mu bujanjabi obusookerwako.
Agamba eno ye’engeri yokka gavumenti gyejja okuyambamu abantu abatasobola kwetuusako bujanjabi.