
Pulezidenti Yoweri Museveni ategezezza nga bwatayinza kwetonda eri mukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barak Obama oba eri omuntu omulala yenna olw’okulwa mu buyinza.
Museveni agamba ensonga y’ekkomo ku bisanja yagonjolwa dda oluvanyuma lw’abannayuganda okusalawo okugisimbira ekkuuli.
Museveni okwogera bino kiddiridde pulezidenti wa Amerika Barak Obama okukolokota abakulembeze ba Africa abalemedde mu buyinza.
Wabula Museveni agamba okuba nga akyali mu buyinza kiraga nti bannayuganda bakyamwagala.