
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Bukulula Kalungu omusajja ow’emyaka 35 bw’afiiridde mu nyumba ng’agezaako okuliimisa muganzi we.
Monday Luguguza afiiridde mu kadirisa mw’abadde akukutira okutuuka ku muganzi we ategerekese nga Scovia Nakalyango.
Okunonyereza okwakakolebwaako kulaga nti abagalana bano basoose kugendako mu kaliyoki era bweyamutuusizza ewaka n’ayita mu dirisa okuketta kyokka n’aziyirira mu kadirisa kano n’afa.
Omugenzi kigambibwa okuba nti aludde nga teyesiga Nakalyango.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Serunjogi agambye nti omuyiggo gwa Nakalyango gutandise