
Ab’ekibinja kya Go-Forward ekinonyeza eyali ssabaminisita w’eggwanga akalulu k’obwapulezidenti bategezezza nga kampeyini zaabwe bwebagenda okuzikuba mu mitendera esatu okusobola okubuna mubuli kasonda k’eggwanga.
Mbaabzi ategezezza nga nga bwebagenda okusooka okutuuka mu municipaali ez’enjawulo nga era bakusokera Masaka olwaleero, bade e Mukono, oluvanyuma boolekere Mityana.
Omu ku bakulira bakakuyege ba Mbabazi , Hope Mwesigye agamba mukakafu nti n’enteekateeka eno, akalulu ka 2016 kabali mu ttaano.
Mbabazi asimbudde okuva mu maka ge e Kololo ng’awerekeddwaako aba Bodaboda