Akutte bendera ya FDC mu lwokaano lw’omukulembeze w’eggwanga Dr. Kizza Besigye asuubizza nti kavuna alya entebe wakwongera ensimbi ezissibwa mu byobulimu okutuuka ku bitundu 15 ku kikumi era ajjewo omusolo ku bikozesebwa abalimi.
Agamba nti kino kyekyokka ekiyinza okubbulula eggwanga elijjuddemu abantu abasinga nga balimi.
Dr Besigye asuubizza okuzzaawo ebibiina by’obwegassi okusobola okuyamba abali mu bulimi n’obulunzi.
Ng’ayogerako eri abantu mu kitundu kye Kadama e Kibuku, Besigye agambye nti abalimi bajja nga kwekolamu omulimu okuva ku muluka ne gombolola okutereeza ebyobulimi.
Ono era alumbye gavumenti olw’okwonoona ensimbi mu kugula enyonyi enywaanyi nga teri ddagala mu malwaliro nga n’enguudo zenyini ziyungula amaziga.
Ate yye owa Go-Forward Amama Mbabazi asuubizza banna Kasese okuzuukiza ekkolero lya Kirembe n’eggaali y’omukka okwanguya entambuza y’ebintu.
Ate yye Pulezidenti Museveni atenderezza amaggye ga UPDF olw’omulimu gwegakoze mu mawanga g’omuliraano nga South Sudan