Ebyemizannyo
Guardiola agenda mu Man City
Abadde atendeka tiimu ya Bayern Munich Pep Guardiola alangiridde nti wakulekulira omulimu guno atandise okutendeka mu Bungereza.
Gyebuvuddeko ono yategeeza nti yali ssiwakwongerayo bbanga ly’ali mu Bugirimaani nga sizoni eno eweddeko.
Guardiola agambye nti ayagala kubeerako mu kibuga ekipya mu Bungereza.
Yadde tannaba kussa mikono ku biwandiiko, bangi bagamba nti agenda mu Mancity.