
Entiisa ebutikidde abatuuze be Bugenge mu gombolola ye Mateete e Sembabule oluvanyuma lwa munaabwe okutondoka n’afa nga asotta akagaali kamanyi ga kifuba.
Omugenzi ategerekese nga Kulabirawo 55 nga era ku ggaali abadde aweeseko enkota z’amatooke 2 z’abadde atwala mu katale okuzitunda.
Bbo abatuuze bagamba nti ono ttamiiro lyelimuwanudde ku kagaali.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyp bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza akabenje kano nga era omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro lye Mateete okwongera okwekebejebwa.