
Abakulu mu mukago ogutaba obuvanjuba bwa Africa bategeezeza nga bwebali abamalirrivu okulaba ng’egwanga lya Burundi liddamu okuloza ku mirembe
Ssabawandiisi w’omukago guno Dr Richard Sezibera era awakanyizza ebizze byogerwa nti omukago gwandiba nga ebya burundui byaguvaako dda , ekiviiriddeko abantu okugenda mu maaso nga batingana
Ono agamba nti mu kaseera kano bingi ebikolebwa okulaba nga emirembe gidda, naddala okuperereza enjuuyi eziyombagana zidde ku meeza
Kinajukirwa nti Burundi ebadde mu ntalo okuviira ddala pulezidenti Nkurunziza lweyasalawo okweyongeza ekisanja