
Babiri ku besimbyewo ku bwaloodi meeya bamaze okusuula akalulu kaabwe .
Munna NRM Daniel Kazibwe eyeyita Ragadee amaze okulonda wali mu zooni yomu Kizungu e Makindye.
Wabula Ragadee asoose kwemulugunya ku bikozesebwa mu kulonda ebituuse ekikeerezi.
Ne munna DP Issa Kikungwe amaze okusuula akalulu ke wali e wankulukuku.
Kikungwe ategezezza nga bwalina essuubi nti wakuwangula akalulu kano era agate enjuyi zonna eziwalangana mu kibuga Kampala.
ye bwebavuganya Erias Lukwago asuubirwa kulonda ku ssaawa 5
Wano mu Kampala okulonda kukyatambulira ddala bulungi yadde nga abantu bakyaali batono ddala.
Nga abasinga bebalamye okusimba enyiriri okulonda, bangi bali mu maduuka gaabwe bakola yadde nga gavumenti y’alangiridde nti olwaleero lunaku lwakuwumula.
Abaana b’amasomero nabo balabiddwako nga bagenda ku masomero.