
Waliwo omusajja abadde afunye obutakaaanye nemunne nga bali mu baala okukakana nga amulumyeko enyindo.
Simon Kasaanya mutuuze mu zooni ya Church Centre mu kibuga kye Mpigi yaletedwa e Mulago nga biwala taka, oluvanyuma lwa Peter Ssebidde okumuluma nga banywa omwenge e Katwe.
Kasaanya ategezeeza nti y’abadde afulumyeko bweru kwetawuluzza ,bwatyo Ssebidde namulinya era Mukuwanyisiganya kwekumuluma enyindo.