Poliisi etegezezza nga abantu 14 bwebafiiridde mu bubenje obw’enjawulo nga buno bwagudewo okwetolola eggwanga lyonna mu gandaalo lya Easter.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba bafunye obubenje 10 , 9 ku bbwo bwabadde bwamanyi wabula n’ategeeza nti bwavudde ku kuvugisa kimama n’okuvuga emmotoka zi ganyegenya.
Kati nga ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, Enanga ategezezza nga Easter bweyatambudde obulungi okutwaliza awamu era nga emisango gibadde mitono.