Skip to content Skip to footer

KCCA yeganye ebyokuggulawo ofiisi ya Lukwago

 

 

lukwagoAb’ekitongole kya KCCA ab’ekikugu beeganye ebigambibwa nti bagguddewo ofiisi ya Loodi meeya wa kampala, erudde ebanga nga nzigale.

Bano okuvaayo Kiddiridde abamu ku baali abakozi ba Loodi Meeya Erias Lukwago, kko n’abawagizi  okukeera okugezaako okuyonja yafiisi eno.

Kati omwogezi wa KCCA Pater Kaujju agamba kkooti yasalawo ofiisi eno egira nga nzigale ,kale nga mpaawo kyaakyusemu.

ono agamba nti ababadde balongoosa bawabuddwa ku nsonga eno era nebabivaako ebyokulongoosa

Ofiisi eno ebadde nzigale okuva mu 2013 oluvanyuma lwabakansala okugoba Lord Meeya Erias Lukwago bwebagezaako okumugyamu obwesige nti emirimu gyali gimulemye.

Leave a comment

0.0/5