Poliisi wano mu Kampala eriko abantu 140 beyakutte mu biseera bya Easter nga bateberezebwa okubeera abamenyi b’amateeka.
Okusinziira ku poliisi Easter yatambudde bulungi okutwaliza awamu nga era omuntu omu yekka yeyatiddwa n’obubenje obwamanyi bwabadde 2 bwokka.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick onyango agamba bano baabaggye ku freedom city, miniprice, Katwe, Kinyoro n’ewalala.
Bano okusinga basazi ba nsawo nga n’abamu baabakutte banyakula busawo bw’abakazi.
Kati bakyabasunsula bebanazuula nti ddala bamenyi bamateeka batwalibwe mu kkooti bavunanibwe.