
Abantu abatanategerekeka balumbye enkambi y’amagye ga UPDF mu Kabuga ke Opit mu gombolola ye Lakwana mu district ye Gulu, nebatta abantu 2.
Bano badduse nebyamabalo by’amagye ne mmundu 8.
Bino bibaddewo ku ssaawa nga 9 ezekiro ekikesezza olwaleero ku nkambi ye Alpha eyesudde kirometere 30 okuva mu kibuga kye Gulu.
Kati omwogezi wamagye ga UPDF mu kibinja 4th Lt Hassan Kato abagenzi abamenye nga Alfonse Ojara omukuumi wokukyalo owa LDU nomwana omulala owemyaka 5 Hagai Okullu.
Lt Kato agamba batandise okunonyereza ekigendererwa kya bano kibadde ki.
Kati ategezezza nti buno bwebulumbaganyi obusoose okuva enkambi lweyatekebwawo mu biseera byotalo lwabayekera ba Lord’s Resistance Army abaddumirwa Joseph Kony olutalo olwakulungula emyaka 20.