Ebyobusuubuzi
Abasubuzi balabudde ku musolo gwa soso midiya.
Bya Samuel ssebuliba.
Nga govumenti etandika okuteeka mu nkola entekateeka entekateeka ey’okujja omusolo ogwa nusu 200 kubuli muntu akozesa social media, abasubuzi bategeezeza nga kino bwekigenda okutuuka nekubeeyi y’ebantu ebitundibibwa.
Kinajukirwa nti okutandika n’olunaku lw’eggulo, mpaawo muntu ayinza kukozesa social media nga tasasudde nsimbi zino, songa abantu bangi babade bakozesa emikutu gino nga empuliziganya, kko n’okusubululirako.
Twogedeko ne ssentebe w’abasubuzi ba kampala abeegatira mu kibiina kyabwe ekya KACIITA Everest Kayondo nagamba nti abasubuzi kuno kwebabade bayita okulamuza byebagula,kko n’okubitunda kale nga omusolo guno gutuuse okubawaliriza okwongeza ku beeyi y’ebintu.
Ono agamba nti govumenti egwana ekimanye nti n’abantu abasaako airtime bagenda kukendeera, kale nga kino kituuse okukosa emisolo gyebajja mu company z’amasimu.