Amawulire
Okuwandiika abagenda okuweebwa emitwalo 10 kukomekerezebwa Lwakusattu
Bya Ivan Ssenabulya
Okumaliriza enkalala zabantu, bayite ba mufuna mpola abakosebwa omuggalo abagenda okuyambibwako gavumenti, kwakukomekerezebwa ku lunnaku Lwokusattu wiiki ejja.
Kino kikakasiddwa Ssabaminista we’gwanga Robinah Nabbanja bwabadde mu kusaba mu maka ga Ssabalabirizi e Namirembe.
Gavumenti egenda mu maaso okuwandiisa abantu okuva mu bibuga nezzi munisipaali abagenda okuweebwa emitwalo 10 mu masimu gaabwe okuyita mu nkola eya mobile money.
Ssabaminisita agambye nti okuva ku lunnaku Lwokusattu abantu batandike okusubira obubaka ku masimu gaabwe.
Eno abadde aleese obweyamu obwobukadde 50 kulwebbanja lyekizmbe kyekkanisa ya Uganda ekya Church House.
Ssabalabirizi, Dr Samuel Kaziimba Mugalu agamye nti okusonda ssente zino kukyagenda mu maaso, okusobola okukendeeza ku bbanja eryobuwumbi 48.
Gyebuvuddeko yategeeza nti ssinga bann-Uganda akakadde 1, buli omu awaayo emitwalo 6 bajja kusobola okusasula ebbanja lino.
Mungeri yeemu, Ssabalabirizi asabye nti obwenkanya buberewo mu ntekateeka eyokuwa ba mufuna mpola obuyambi abakoseddwa omuggalo, obutabaako gwebaleka mabega.
Wano era wasinzidde navumirira okubolebwa okukolebwa ku balwadd ba ssenyiga omukambwe, nabafudde ekirwadde kino.