Amawulire
Mwetegekere amataba
Ng’ebiseera by’enkuba bitandika butandisi, poliisi enziinya mooto alabudde abali mu bifo ebirumbibwa amataba okubeera obulindaala
Ebifo ebikosebwa amataba naddala mu kampala kuliko Namasuba, bwaise, kawempe ne kalerwe ate bbo ababeera ku nsozi ng’abe Buduuda nabo batera okulumbibwa bibamba
Akulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti bategeezeddwa okubeera obulindaala okuyamba abali mu bwetaavu kyokka kitandikira ku bantu benyini abafuna obuzibu
Asabye abantu mu bitundu bino okugogola emyaala okukola amakubo omuyita amazzi