Amawulire
E Misiri, abajaasi 6 battiddwa
Abajaasi ba Misiri mukaaga battiddwa abakwata mmundu ku kifo awakeberebwa abantu mu bukiikakkono bw’ekibuga ekikulu Cairo.
Ab’ebyokwerinda bagamba nti bbomu bbiri nazo zibadde zitegeddwa mu kitundu kino kyokka nga baziteguludde
Bino bizze ng’era waliwo omujaasi omulala attiddwa mu baasi
Obulumbaganyi mu ggwanga lino bweyongedde okuva omukulembeze eyali mu ntebe Mohammed Mursi amamuulwa ku ntebe.