Amawulire
E Luweero Kulonda
Okuddamu okulonda omubaka omukyala mu district ye Luweero kutandise namiuyo mu bitundu ebimu.
Kino kiddiridde abamu ku balonzi okusanga nga amanya gaabwe tegali ku nkalala z’abalonzi.
Olwokaano mulimu abantu bana okuli munnaDP Brenda Nabukenya, Munna NRM Rebecca Nalwanga n’abesimbyewo kulwabwe okuli Faridah Namubiru ne Ramulah Kadala.
Abantu abasoba mu mitwalo 18 bebasubirwa okwetaba mu kulonda okwetaba mu kullonda kuno mu bifo ebisoba mu 300.
Ebyo nga bikyali bityo bbo ab’oludda oluvuganya gavumenti okulonda kwe Luwero bakukwasizza maanyi nga basindise abantu baabwe mubuli gombola okukuuma akalulu awatali akabba.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya DP , Matthias Nsubuga agamba buli wamu bataayizzawo wabula nga mweralikirivu olwabakanyama abajiddwa e kampala ku biloole nga agamba bano banditatganya okulonda.
Wabula ye omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba tegenda kugumikiriza ssagaliko lyonna.