Amawulire
Ebyokwerinda Binywezeddwa ku Kisaawe Kyenyonyi Entebbe
Eby’okwerinda Byongedde okuywezebwa ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe oluvanyuma lw’abatujju okutiisatiisa okulumba eggwanga olunaku olw’eggulo.
Buli ayingira n’afuluma ekisaawe kati ayazibwa buli kantu nga n’ebifo ewayazibwa abantu kumpi n’ekisaawe kino byongeddwako.
Ye omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti abantu tebasanye kutya kubanga ekisaawe poliisi ekikuuma butiribiri nga bwebagenda maaso n’ebikwekweto by’okwerinda okwewala obulumbaganyi bwonna.
Amawulire g’abatujju okulumba eggwanga gaaviriddeko n’ekitebe kya Amerika wano mu Kampala okulabula bannansi baabwe okwewala okukozesa ekisaawe kino mu kiseera kino.
Yo embeera mu kibuga wakati yazze dda mu nteeko oluvanyuma lw’amagye ne poliisi okulawuna ekibuga nga bekengedde abatujju okulumba.
Abasuubuzi baguddewo amaduuka gaabwe nga era buli kimu kitambula kinnawadda.
Wabula era ku bizimbe ebisinga, nawo okukebera kwamanyi.