
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga atongozezza omulimu gw’okukulakulanya akayanja ka Kabaka e Mengo
Akayanja kano kagenda kufuulibwa kya bulambuzi mu Buganda okujjamu ensimbi ezitambuza emirimu gy’obwa kabaka.
Ku Kayanja kuno kugenda kuzimbibwaako woteeri , ekifo ekirirwaamu nga kiri ku mazzi, awasimbwa emmotoka, ekifo ky’obulambuzi kko n’okuketolooza olukomera.
Katikkiro agambye nti ekifo kino kijja kuyamba Bugana okulinnyisa eddaala ,’okugisakira ensimbi olwo ne Namulondo enyweere.