Skip to content Skip to footer

Amerika etabukidde abatujju

File Photo: Aba Alshababu
File Photo: Aba Alshababu

Gavumenti ya Amerika etadde obukadde bwa doola 27 ku mitwe gy’abatujju ba Al Shabab 6.

Abayigibwa obubi enyo kuliko  Mahad Karate era amanyiddwa nga Abdirahman Mohamed Warsame, agambibwa okubeera emabega w’obulumbaganyi bwa yunivasite ye Garissa e Kenya omwafiira abantu 148.

Ye  Abu Ubaidah aliko obukadde 6 nga kati y’akulembera abatujju bano oluvanyuma lw’eyali omukulembeze Ahmed Abdi Godane okutibwa mu bulumbaganyi bwa bbomu ezasulibwa obunyonyi bwa Amerika obwevuga bwokka.

Leave a comment

0.0/5