Skip to content Skip to footer

Mwezi gwa bakyala basuubuzi

File photo: Omukyala ngali muduuka
File photo: Omukyala ngali muduuka

Gavumenti esabiddwa okwongera ku nsimbi z’essa ku nsonga z’abakyala.

Okusaba kukoleddwa akulira abakyala abali mu byobusuubuzi Gudula Naiga mu kutongoza omwezi gw’abakyala abasuubuzi.

Gudula agambye nti kiwa amaanyi nti abakyala abenyigira mu byobusuubuzi ebitonotono bawezezza ebitundu 44 ku kikumi.

Kyokka omukyala on agambye nti abakyala abasuubuzi bakyasanga obuzibu buyitirivu omuli n’obuzibu mu kwewola ensimbi.

Mu mwezi guno omukulu ono agamba nti ensonga nga zino zandibadde zikolebwaako.

Omwezi guno gugenda kutambuzibwa ku mulamwa ogugamba nti okuyamba abakyala okutuuka ku kisinga mu byobusuubuzi

Leave a comment

0.0/5