
Ssabasajja Kabaka wa Buganda akunze abavubuka okukola kyonna ekisoboka okusobola okweyimirizaawo okwewala okusabiriza.
Obubaka buno omutanda abutisse Katikkiro ku mikolo gy’olunaku lw’abavubuka mu Buganda egibadde wali ku ssaza e Kyaddondo .
Omutanda agambye nti omulembe gwe yaguwa bavubuka kyokka nga tebirina kukoma mu bigambo .
Omutanda agambye abavubuka balina omulimu gw’okuzza Buganda ku ntikko
Omukolo guno gwetabiddwaako n’akutte bendera ya FDC Dr Kiiza Besigye