
Ekibiina kya NRM kyanjizza enteekateeka yaakyo ey’emyaka ettaano egijja giyite manifesto.
Ekibiina kino essira kyakulissa ku kwongera okunyweza eby’okwerinda kubanga gwemusingi okuzimbibwa ekibiina.
SSentebe wa NRM era nga y’akutte bendera ku ky’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni agambye nti ng’oggyeeko ebyo, essira lyakussibwa ku by’emirimu okulaba abavubuka abatalina mirimu wakiri bagyetandikirawp.
Ono asabye bamemba b’ekibiina buli gyebadda balambulire abantu ebiri mu manifesto mu kifo ky’okudda ku nsonga ezitalina makulu.
Ebyo nga biri bityo, ababaka abwangulwa mu kamyufu bakyakaaba
Kati omubaka we Ibanda mu bukiikakkono, Xavier Kyoma ng’ono yawangulwa major Guma gumisiriza agamba nti tabisobole nga wakwesimbawo ku lulwe.
Ono agambye nti akamyufu kafumbekera kavuyo kale ng’ebyavaayo tebabyesiga