
Ebikumi n’ebikumi by’abakungu b’ekibiina kya Democratic Party olwaleero basuubirwa okweyiwa wali e Katomi mu disitulikiti ye Wakiso okwetegekera ttabamiruka.
Ttabamiruka ono agulwawo mu butongole olunaku olw’enkya okutuusa ku sande .
Bano era bakulonda obukulembeze obuggya okuviira ddala ku ssenkaggale okutuuka ku bakulembeze b’ebyalo.
Ssenkaggale w’ekibiina kino Norbert Mao ategezezza nga bamemba 1,700 bwebakakasizza okwetaba mu ttabamiruka ono .