Skip to content Skip to footer

Aba FDC batabuse e Lubaga

File Photo: Ssebugwawo nga yogeera ko ne Jeniffer Musisi
File Photo: Ssebugwawo nga yogeera ko ne Jeniffer Musisi

Ab’ekibiina kya FDC abaagala ekifo kya ssentebe w’egombolola  ye Lubaga buli omu agaanye okulekera munne era bonna balemedde mu lwokaano.

Amyuka pulezidenti w’ekibiina kino mu Buganda  Joyce Nabbosa SSebugwaawo ne  John Kikonyogo bonna bagyeyo empapula zokusunsulibwa nga mukiseera kino Nabbosa ye ssentebe.

Kikonyogo agamba alinze akamyufu k’ekibiina ku kifo kino n’abikoowa kwekusalawo okwesimbawo nga atalina kibiina.

Agamba bangi babadde bamusaba alekere Nabbosa ye ky’aganye.

 

Kawefube w’okufuna omwogezi w’ekibiina kino okubaako nekyayogera agudde butaka.

Leave a comment

0.0/5