Bya Ritah Kemigisa ne Ndaye Moses
Olusirika lwa NRM olwa Central Executive Committee, lukyagenda mu maaso ngolwaleero ssentebbe wekibiina, era omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni, assubirwa okwogerako eri ba memba, ku mirandira gyekivbiina, nebyo byebakiririzaamu.
Olusirika luno olwe nnaku 5 lumbujira wali ku Chobe Safari Loges, nga luteesa ku nsonga ezenjawulo.
Olunnaku olwe ggulo, bano basazeewo okuteek amaanyi ku miruka, kwebaba basinziira okulondoolanga ebyenfuna.
Basazeewo okutondawo enkola eyokuwagira abalimi, gamba okwongera amaanyi mu nima eyokufukriira nemirmu emiralal egyenkulakulana, nga gyakulondoolwanga abakulira emiruka.
Mungeri yeemu omubaka wa Nakaseke south mu palamenti, Lutamaguzi Ssemakula yye asabye aboludda oluvuganya gavumenti, obutalimbibwa, okugenda nebiteeso bya NRM ebyokusimbanga mu migongo.
Kino aba NRM bagambye nti kyakunedeeza ku nsimbi empitrivu, ezisasanyizibwa nokukendeeza ku bikolwa byokubba obululu.
Wabula agambye nti aboludda oluvuganya gavumenti bateekeddwa, okusigala nga babanja ennongosereza mu mateeka gebyokulonda.