
Abamu ku babaka ba palamenti okuva mu kibiina kya NRM bakyakubagana empawa ku nsimbi ezagerekeddwa ekibiina kyabwe eri oyo yenna ayagala okwesimbawo mu kamyufu.
Omubaka wa Mityana North Godfrey Kiwanda agamba ensimbi zino zakulemesa naddala abagenda okwesimbawo omulundi ogusookera ddala.
Kiwanda agamba ssente sizezibadde zisaana okusalawo ku bumalirivu bw’omuntu okwesimbawo.
Okusinziira ku byafulumizibwa ekibiina kya NRM, ayagala okwesimbawo ku bwa pulezidenti alina kusasula obukadde 10 sso nga ayagala obw’obubaka bwa palamenti atalina bukadde 2 tatawaana kugyayo foomu.
Abo bonna abaagala okwesimbawo ku bwa ssentebe bwa disitulikiti wa kakadde kamu, sso nga bakansala balina kusasula emitwalo 20.