Skip to content Skip to footer

Aba taxi bazzeeyo ewa Kaihura

Abagoba ba Taxi mu kibuga basazeewo okuddayo buto eri ssabapoliisi Gen Kale Kaihura ku nsonga z’emmotoka zaabwe ezaboyebwa

Okwemulugunya kwaabwe kuddiridde okuboyebwa kwa taxi eziwera lwabutasasula fayini.

SSentebe w’abagoba ba Taxi ne ba kondakita, Mustapaha Mayambala agamba nti batuuka ku ndagaano ne KCCA okubaddiza taxi zaabwe kyokka nga aba KCCA bakyagaanye nga bali wamu ne poliisi.

Omwezi oguwedde, aba taxi beekalakaasa nga beemulugunya ku mbeera mwebakolera omuli okutulugunyizibwa abasirikale ba KCCA n’okuboyebwa kw’emmotoka zaabwe

Leave a comment

0.0/5