Bya samuel Ssebuliba.
Ebibiina by’obwanakyeewa bitabukidde ebitongole ebikuuma dembe nga byagala abajaasi bonna abaakola obulabe ku bantu mu Arua bakwatibwe era bavunanibwe mubuga z’amateeka.
Bino bigidde mukadde nga banna- Uganda battabukidde government olw’okukwatibwa, kko n’okukubwa kwababaka okwali Francis Zaake ne Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi-wine.
Bwabadde asoma ekiwandiiko ekikoleddwa ebibiina bino byonna Isabella Akitenge agambye nti amajje gagwana galage banna-uganda nti gaanakuwalira eby’akolebwa mu Arua, wabula nga kino kirina kukolebwa nga bakwata bonna abaali mu kikwekweto kino.
Ono agamba nti ne kooti zenyini zigwana zanguwe okuyimbula ababaka bano basobole kufuna obujanjabi mu bwangu.