Skip to content Skip to footer

Abaana banunuddwa okuva ku bayekeera

Enanga

Poliisi eriko abaana 23 b’enunudde nga bano babadde bagenda kuggattibwa ku bayeekera ba ADF

14 bajjiddwa ku musajja amanyiddwa nga Sheikh Abdul Mbazira’ e Namawojjolo ate abalala basangiddwa wa Hajati Mariam Athuman Nalumagga e Mpooma mukono.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti Sheikh Mbazira yali muyekeera wa ADF kyokka n’aweebwa ekisonyiwo

Enanga agamba nti abaana bano bajjibwa mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu nga ne bakadde baabwe tebategedde

Leave a comment

0.0/5