Skip to content Skip to footer

Ababaka ba Kampala bakusisinkana ku bya kampala

Ababaka ba palamenti okuva mu kitundu kya greater Kampala nga kino kizingiramu Kampala n’ebitundu ebiriranyewo bakusisinakanamu olunaku olwenkya okuteesa ku nongosereza mu mateeka ga KCCA.

 

Mu nongosereza mwemuli akawayiro akawa bakansala obuyinza okulonda loodi meeya sso nga luli bannakuambapa bebabadde belondera loodi meeya.

 

Mu nongosereza zino, akulira emirimu mu KCCA bamwongera amaanyi okuddukanaya emirimu mu kibuga nga kati meeya wamikolo.

 

Kati ababaka bano nga bakulembeddwamu omubaka wa municipaali we Mukono era minisita wa gavumenti ez’abitundu mu gavumenti yekisikirize Betty Nambooze bagamba kino kimenya semateeka awa bannayuganda bonna eddembe lyokwelondera abakulembeze baabwe.

Leave a comment

0.0/5