
Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda yegaase ku bazze bavumirira ekya sipiika wa palamenti okuyingira essabo okwebaza bajjaja okudda ku bwa sipiika wa palamenti.
Ssabalabirizi Stanley Ntagali mu kiwandiiko ky’afulumizza ategezezza nti yadde nga bakkiririza mu by’obuwangwa, obwesige bulina kubeera mu mukama katonda yekka nga era y’alina okumalira buli omu ebyetaago bye.
Ntagali agamba kikyamu okusaba emikisa okuva eri emyoyo emifu.
Ntagali era akubirizza abakulisitu bonna naddala abo abali mu bifo bya gavumenti ebyamanyi mu gavumenti okuba ekyokulabirako ekirungi eri abalala.
Ye Kadaga yewozezzaako nga bweyabadde atumbula eby’obulambuzi.