Skip to content Skip to footer

Nambooze alabudde aba FDC

namboozeAmyuka ssentebe w’ekibiina kya DP nga era ye mubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze awabudde ab’oludda oluvuganya gavumenti obutasuulawo buvunanyizibwa bwabwe obwokulonda gavumenti y’ekisikirize mu palamenti.

Nambooze agamba oluvanyuma lw’ebibiina by’obufuzi okusemba ababaka baabwe okulayira kati baabasulawo.

 

Nambooze agamba betaaga akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti  era n’asaba abalonda aba FDC okwebuuza ku bekikwatako bonna nga tebanasalawo ku nsonga yonna.

 

Kino kiddiridde aba FDC okuwera obutalonda gavumenti yakisikirize nga bawakanya obuwanguzi bwa pulezidenti Museveni.

Leave a comment

0.0/5