
Eyali sipiika wa palamenti nga kati n’amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi agamba nti emirimu gya palamenti girina okukolebwaako mu bwangu ng’ebibiina tebinnaba kutandika kuwandiisa banesimbawo, ababaka bwebaba nga bakwetaba mu kuteesa
Kino kijjidde mu kaseera nga palamenti etubidde n’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda olw’ebbula ly’ababaka mu Lukiiko nga bangi kati basiiba bawenja kalulu.
Ssekandi agambye nti ababaka ba palamenti bangi bwebamala okwewandiisa okuddamu okwesimbawo tebaddamu kulabikako kubanga akalulu kaba kabawuuba
Ono agamba nti kikulu nnyo okwanguya ensonga enkulu okuwa ababaka obudde okuwenja akalulu.