
Waliwo akatambi akafulumiiziddwa nga kalaga abakuumi mu kkomera nga batulugunya mutabani w’omugenzi Col Mummar Gaddafi n’abasibe abalala era nga kati kanonyerezebwaako
Akatambi kano kalaga Saadi Gaddafi ng’akaaba mu bulumi wakati mu kukubwa abakuumi obwedda abamulinnyako.
Ssabawaabi mu ggwanga lya Libya ategeezezza nti bakunonyereza okuzuula abakuumi abaakikoze era babonerezebwe
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bagamba nti tewali muntu asana kutulugunyibwa