Bya Eria Lugenda
Abantu abaliko obulemu ku mibiri awamu n’abakadde mu district ye Kayunga balaze obutali bumativu kulwengeri minisita omubeezi owatekinologiya nebyuuma bikalimagezi Idah Nantaba gyeyagabyeemu omuceere ogwasindikiddwa office ya Sabaminisita mu Kayunga,gyebagambye nti yabaddemu kyekubila nokubasosola.
Abakadde nabaliko obulemu basinzidde mulukiiko lwaabwe lwe baakubye ku gombolola ye Kayunga nebagamba nti omubaka bweyabadde agaba omuceere guno teyabafuddeko.
Obusawo bwomuceere 600 nga buli kamu kalimu kilo amakumi 50 bwebagabiddwa minisita Nantaba eri abakyala bokka nga abalina endaga muntu era nga buli mukyala yafunye kilo 10.
Wabula abakadde n’abalina obulemu bakiise ensingo nebategeeza nti abafunnye omukyeere guno bali bulungi,nga amaka
mangi agali obubi mubyaalo ebyenjawulo nabakadde kko nabalema babadde tebasobola kkuva mubitundu byewala nga Bbaale ne Galilaaya okugenda e Ndeeba mu Kayunga omuceere guno gyeggwagabiddwa.
Bano basabye abakulembeze abenjawulo okuviira ddala ku
Lc1,RDC,DISO,CAO nabalala bakiikilirwenga mukugaba ebintu bya Gavumenti okuteekawo obwelufu.