Bya Tom Angulin.
Ababaka ba parliament baliko ekiteso kyebagala okuleeta nga abakyala abakulu abaganza obwana obulenzi obutanaweza myaka 18 bakangavulwa nga bweguli kubasajja abaganza obwana obuto.
Kuno okuteesa kukoleddwa omubaka we Kamwenge era omuwanika w’ekibiina ekitaba ababaka ba parliament abakyala ekya UWOPA Dorothy Nshaija bwabadde awaayo ebirowozo ku bago ly’eteeka elya sexual offence bill.
Ono agamba nti abakyala bangi bazze ku baana okubaganza, kyoka nga mpaawo kibonerezo kyebafuna.
Ono agamba nti kiruma okulaba nga omukazi aganza omwana ataneetuka asibwe emyaka 7 oba okusasula omutwalo gwa silingi , kyoka omusajja akwatibwa ku musango guno asibwa mayisa.