Bya Ruth Anderah.
Waliwo omusajja avunaanibwa ogw’okuyiira mukyalawe acide wamu n’omwana waabwe owe sabiiti ebiri alabiseeko mu kooti enkulu wano mu Kampala omusango naagwegaana.
Kassim Kakaire ayogerwako alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kooti enkulu Justice Anthony Ojok Ayu n’amusomera omusango guno.
Obujulizi obuleteddwa munamateeka wa government Joseph Kyomuhendo bulaze nti mu mwaka gwa 2014 wano e Naalya ku nkulungo , Kakire yapangisa abantu 2 naabawa obukadde busatu nebayiira Josephine Namanda Acid nga ono yali musuubuzi wa Container village wano mu kampala.
Abaasoka okukwatibwa bebasajja beyatuma okuli Ivan Namanya ne Faroouq Walusimbi nga bano baasibwa emyaka 25.
Ono waakudda mu kooti nga 8thJanuary 2019